Abavugirizi abakulu aba ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes aba MTN Uganda nga bakolaganira wamu n’ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, balangiridde abawagizi abakulu aba ttiimu ya Uganda Cranes.
Okuva ku mipiira 2 egyasembayo mu mpaka za World Qualifiers e Namboole, MTN ebadde yatongoza kawefube w’okunoonya abawagizi abasinga okujanjawaza Uganda Cranes, era bano balangiriddwa ku kitebe kya MTN mu Kampala.
Enteekateeka y’okunoonya abawagizi abasinga yatuumibwa MTN Tulage Faaya, era okulonda abawagizi bano kubadde kutambulira ku mutimbagano.
Ttiimu 9 zezeetabye mu kuvuganya kuno okwakomekkerezebwa nga 28 June,2024, n’obululu emitwalo 160,000 gyejaakubiddwa.
Omuwagizi awangudde ye Uncle Money n’obululu emitwalo 44,464, omuwagizi ow’okubiri ye Team Dressers n’obululu emitwalo 38, 286 ate nga omuwagizi ow’okusatu ye Kamodo n’obululu emitwalo 25,234.
Bano bonsatule baweereddwa ensimbi obukadde 5 buli omu okuva mu MTN, nga kati ba Ambassador ba MTN mu kuwagira Uganda Cranes.
Somdev Sen akulira eby’okutunda mu MTN, agambye bakuvugiriranga abawagizi bano nga Uganda Cranes ezannya e Namboole n’ebweru wa Uganda.
Akinoganyiza nti bano abalondedwa sibebenkomeredde, wabula wakyaliwo omukisa omulala okwongera abawagizi abalala, ate n’okujjawo abalondedwa singa banaaba tebakoze bulungi, olwo ne basikizibwa abalala.
Uganda Cranes yetegekera empaka za Africa Cup of Nations qualifiers eza 2025, ng’okusunsulamu kuno kutandika mu mwezi ogwa September, n’okukyaza South Sudan mu kisaawe e Namboole omwaka guno 2024.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe