Abadde ssentebe w’ekibiina ki NRM mu district ye Kayunga Moses Karangwa Kaliisa afiiridde mu kabenje mukiro ekikeseza olwaleero nga 18 May,2026.
Akabenje akafunidde Ssuukka okuliraana amafuta ka Lake Oil Station ku luguudo oluva e Kayunga okudda e Jinja.
Ssentebe wa district ye Kayunga Andrew Muwonge ategezezza CBS nti Karangwa abadde afunye ebisago bingi naddusibwa mu ddwaliro e Nakasero gy’afiiridde ng’obudde busaasaana.
Karangwa yaabadde ssentebe wa NRM mu district ye Kayunga, era omuwabuzi wa President ku ensonga ez’enkizo.
Mu kalulu ka 2026 yavuganyako ku kifo kyobwa ssentebe bw’omumyuka wa NRM mu Buganda wabula nawangulwa omubaka wa Kyotera Hajji Kyeyune Haruna Kasolo.#













