Kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi kyaddaaki eyimbudde ku kakalu kaayo Minisita wensonga ze Karamoja Mary Gorret Kitutu wamu ne muganda we Naboya Micheal Kitutu, bawoze emisango gyobuli bw’enguzi nga bava waka.
Ennaku 2 eziyise kooti ebadde yagaana okuyimbula minister ku kakalu, olw’abantu 4 beyaleeta okumweyimirira okuba nti kwaliko omu yekka eyalina ebisaanyizo.
Minister ayimbuddwa ku kakalu ka bukadde 10 ez’obuliwo ate abantu abamweyimiridde balagiddwa okusasula obukadde 200 buli omu, singa Minister yesisiggiriza natadda mu kkooti.
Minister era alagiddwa okuteresa kkooti ebyapa by’ettaka lye 2 ,nga lino lisangibwa Wakiso, okutuusa omusango guno bwegunaggwa.
Mu ngeri yeemu kkooti ekkiriza neyimbula ku kakalu mwannyina wa Minister Naboya Micheal Kitutu bwa ku bukadde 3 ez’obuliwo, ate abamweyimiridde nabo nebalagibwa okusasula obukadde 100 buli omu ezitali zabuliwo.
Minister ne munne babadde mu nkomyo okumala ennaku 8 oluvannyuma lw’okuggulwako emisango gyobuli bwenguzi, ng’oludda oluwaabi lubalumiriza okwezibika amabaati g’abawejjere be Kalamojja agawerera ddala 14,500.
Kkooti era ebalagidde okudda mu kkooti nga 27th April, 2023 okumanya okunonyereza mumusango guno wekutuuse, ate era neyisa nekibaluwa ekiragira omuwandiisi wa Minister Abaho Joshua okulabikako mu kkooti ku lunaku olwo naye okuggulwako emisango gyegimu.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam