Embeera eyongedde okubijjira Minister w’ensonga z’e Kalamoja Mary Gorret Kitutu ngera y’e Mubaka omukyala owa District ye Manafa, kkooti ewozesa abalyake nabakenuzi bwegaanye okumuyimbula ku kakalu kaayo.
Omulamuzi wa kkooti ento ewozesa abalyake n’abakenuzi Joan Aciro agambye nti abantu 4 minister beyaleeta okumweyimirira omu yekka yabadde alina ebisaanyizo byonna.
Bweyali asindikibwa mu kkomera kulwokuna lwa wiiki ewedde, Minisita Kitutu yaleeta abantu 4 okumweyimirira nga baakulemberwamu bba Micheal George Kitutu nabalala, kyokka kkooti ekizudde nti abasatu tebalaze mirimu gyebakola, okuggyako omu yekka Seth Wambedde omubaka wa Mbale City.
Omulamuzi alagidde Minisita Kitutu okuzzibwa e Luzira gyamaze ennaku 6, okutuusa ku friday ya wiiki eno kkooti lwegenda okuddamu okuwulira okusaba kwe okuyimbulwa.
Minister avunaanibwa emisango gyobulyi bwenguzi n’obulyake.
Oludda oluwaabi lumulumiriza okwezza amabaati g’abawejjere be Karamojja agawerera ddala 14,500 nga bino byonna byaliwo wakati wa June 2022 ne January 2023.
Minister avunaanibwa ne mugandawe Naboya Micheal Kitutu.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam