Minisiter w’ensonga z’e Kalamoja Mary Gorret Kitutu leero lwakomezebwawo mu kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi, okusalawo oba emuyimbula ku kakalu kaayo.
Kulwokuna lwa wiiki ewedde minisita Kitutu ngali ne mmwanyina Naboya Micheal Kitutu basindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira, oluvannyuma lw’okuggulwako emisango gy’obulyi bw’enguzi, ku bigambibwa nti yekomya amabaati g’abawejjere be Karamoja agawerera ddala 14,500.
Bano emisango bagyegaana era Minisita Kitutu ngayita mubannamateeka be yasaba okweyimirirwa bweyawaayo ebyapa by’ettaka 2 ne passport z’ekikungu 2.
Oludda oluwaabi lwasimbira ekkuuli okusaba kwe okweyimirirwa, lw’ategeeza nti singa ayimbulwa kyangu okutataganya okunoonyereza m umusango guno, era lwasabayo nekiseera okwetegereza ebyapa by’ettaka minisita byeyawa kkooti oba nga bituufu.
Omulamuzi Joan Aciro owa kkooti ewozesa abalyake nabakenuzi leero ku saawa munaana ezemisana lwasuubirwa okusalawo ekyenkomeredde oba minisita ava mu kkomera gy’amaze ennaku 6.
President Yoweri Kaguta Museven yayisizza ekiragiro nti abantu bonna omuli ne ba minister abalala abekomya amabaati agaali gagenda e Kalamoja nti bavunaanibwe n’abalala baggalirwe awatali kuttira muntu yenna ku liiso.
Mu kiseera kino police eriko fayiro 8 zewadde office ya Ssaabawaabi wa government asalewo ekiddako, ku ba minister abalala n’ababaka ba parliament abagambibwa okugabana ku mabaati agaali ag’abawejjere be Kalamoja.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam