Minisiter w’ebyentambula mu ggwanga Gen. Edward Katumba Wamala atangaazizza ku biragiro ebiggya ebyayisiddwa abaddukanya ekisaawe ky’ennyonyi e Ntebe ebikugira abantu okukuba ebifaananyi n’okukwata obutambi ku kisaawe
Gen Katumba agambye nti ekiragiro kino kikwata ku bifo byokka eby’enkizo naddala aweekebejjezebwa abayingira ne mu bifo ebirala awakolerwa emirimu egy’ekikugu.
Ekiragiro eky’obutakuba bifaananyi n’okukwata obutambi, kyatanudde banna Uganda bangi nga balumiriza nti kyakoleddwa okubalemesa okukwata obujulizi ku babakijjanya n’okubaggyako ensimbi mu mancoolo.
Minister Katumba, ategeezezza nti wabaddewo abantu ebeegumbulidde omuze gw’okukuba ebifaananyi n’okukwata obutambi mu bifo ebyobwerende ebifaananyi gyebitasaana, wabula agambye nti “Selfie” n’ebifaananyi ebirala ebyebijjukizo bikkirizibwa, ng’abebyokwerinda bamalirizza okwekebejja byonna.
Asuubizza nti bakola ekisoboka okukakasa ng’emize egyalonkomwa abakozesa ekisaawe tegiddamu olwakaweefube gwebaliko owokutereeza empeereza ku kisaawe, kyongere okusikiriza abantu okukikozesa.
Omwezi gwa January oguwedde 2023 waliwo banna Uganda abeesowolayo okwoleka obulyake n’okutulugunya ebibadde bikolerwa ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe, ekyaviirako abakiddukanya aba Uganda Civil Aviation Authority okubaako amateeka amaggya gebayisa ku bakozi baabwe, omuli okwambala Uniform, okuwandiikiddwa amannya gabwe n’obutabakkiriza kubeera na ssimu ku mulimu.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.