Minister omubeezi ow’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga era omubaka wa Ntenjeru North Amos Lugoloobi ayimbudddwa ku kakalu ka kooti, ku misango gy’okwezibika amabaati agaali galina okuweebwa abakalamoja.
Kooti ewozesa abakenuzi n’abalyake emuyimbudde ku kakalu ka bukadde bwa shs 10 ak’obuliwo ate abamweyimiridde buli omu obukadde 100 ezitali za buliwo.
Abamweyimiridde kuliko omubaka omukyala owe Namutumba Mariam Naigaga, James Kakooza omubaka wa Uganda mu parliament ya East Africa ne Dr. Kefa Kiwanuka omubaka wa Kiboga East.
Lugoloobi aweereddwa obukwakkulizo; alagiddwa okuwaayo ekyapa ky’ettaka lye eriri e Makindye, wamu ne passport ye eri kooti, ate era takkirizibwa kufuluma bweru wa ggwanga nga tafunye lukusa lwa lwa Kooti.

Omulamuzi Abert Asiimwe amulabudde obutagezaako kutaataganya kubuuliriza ku musango guno, kiyinza okumuviirako akakalu ke okusazibwamu mu bwangu ddala.
Lugoloobi avunaanibwa okwezibika eminwe gy’amabaati ga government 700, agaali galina okuweebwa abantu be Kalamoja, nga bino byonna byaliwo wakati wa July 2022 ne March 2023, emisango gyeyegaanye.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam