Ekitongole kya bambega ba police ekinoonyereza ku misango kiwadde minister Omubeezi ow’ensonga ze Kalamoja Agnes Nandutu amagezi agende ku police akole statement ,ku bigambibwa nti yoomu ku beegabanya amabaati g’abawejjere b’e Kalamoja.
Minister Agnes Nandutu police egamba nti okuva lweyamuwandiikira wiiki ewedde talabikangako, kyokka nga yetaagibwa abeeko byannyonnyola.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agambye nti bakyalinzeeko minister Nandutu agende yeyanjule eri police, kyokka singa tateeka mu nkola kusaba kwa police yandikwatibwa ku mpaka.
Mu ngeri yeemu police erabudde bannamawulire begambye nti bawandiika amawulire agasasamaza , omuli amawulire agoogera ku bifo ba minister abatanakwatibwa gyebasula nti n’abamu gyebekwese nti tegasaanidde.
Wofiisi ya Ssaabawaabi wa government eteekateeka fayiro za ba minister abawerako abagambibwa nti begabanya amabaati g’abawejjere e Kalamoja bavunaanibwe.
Fayiro za ba minister 2 zezibadde zakamala okukolebwako wofiisi ya Ssaabawaabi wa government nebakwatibwa police, n’oluvannyuma nebatwalibwa mu kooti ewozesa abalyake n’abakenuzi okuli minister w’ensonga ze Kalamoja Mary Gorret Kitutu ne minister Amos Lugoloobi.
Bisakiddwa: Kato Denis