Minisita wa Buganda ow’abavubuka , ebyemizannyo n’okwewummuza Owek. Henry Moses Sekabembe Kiberu akubirizza abakozi mu bitongole by’obwakabaka okuba abayiiya ennyo n’okukola n’obumalirivu okusobola okukuuma ekitiibwa kya Kabaka.Bino abyogeredde ku woofiisi ye ku Bulange Mengo bwabadde asisinkanye abakulira ttivvi y’Obwakabaka BBS Terefayina abamukyaliddeko.Bano bakulembeddwa Ssenkulu Eng Patrick Sembajjo n’akulira entambuza y’emirimu (Chief Operations Manager) Steven Dunstan Busuulwa..