Olukiiko oluddukanya empaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere, lukakasizza nti ttiimu y’essaza Mawogola egenda kukozesa kisaawe kya ttiimu y’essaza Ssingo ekye Mityana okukyalizaamu ttiimu y’essaza Kyaggwe.
Omupiira guno gugenda kuzannyibwa ku Sunday eno nga 01 September,2024.
Mawogola yawerebwa emipiira 2 nga tezannyira mu kisaawe kyayo ekye Ssembabule.
Kino kyajjawo olw’efujjo eryakolebwa abawagizi ba Mawogola bwe baali battunka ne Buweekula, ekyaleetera n’omupiira guno okuyiika mu dakiika eye 75.
Olw’ebikolwa ebitali bya mupiira ebyalabikira ku mupiira guno, Mawogola yalagirwa obutakozesa kisaawe kye Ssembabule okumala emipiira 2.
Mawogola era yalagirwa okuteeka akatimba ku kisaawe kye Ssembabule nga tenaddamu kukikozesa.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe