Ttiimu y’essaza Butambala eraze amaanyi mu mpaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere bw’erumbye Bugerere omwayo n’egikubirayo goolo 2-1 mu mupiira ogubaddeko n’okuluma obugigi mu kisaawe e Ntenjeru.
Butambala yesoose okuteeba ng’eyita mu Ssekandi Charles mu dakiika eya 20, olwo Bugerere n’egatta omupiira guno mu dakiika eya 63 nga eyita mu Ssali Mark, kyokka Butambala n’eteeba goolo ey’obuwanguzi mu dakiika eye 85 nga eyita mu Edrine Owakiguyi.
Butambala obuwanguzi buno bugitutte mu kifo eky’okubiri mu kibinja Bulange n’obubonero 5, nga basibaganye ne Bulemeezi ekulembedde era nayo n’obubonero 5.
Wabula oluvanyuma lw’omupiira guno, omutendesi wa Bugerere Noah Mugerwa, abawagizi bagadde okumugwa mu malaka nga bamusaba abaviire ku ttiimu yabwe, era abe by’okwerinda bebamufulumiza ekisaawe.
Emipiira emirala, Bulemeezi nayo eraze amaanyi bw’ekubye Buvuma goolo 3-1 mu kisaawe kya Kasana Luweero.
Ttiimu y’essaza Buddu nayo ekubye Kyaggwe goolo 1-0 etebeddwa Lubega Sharif mu kitundu ekisooka mu kisaawe kya Masaka Recreation grounds, era omupiira guno gwetabidwako omumyuka wa Ppookino Payinento Yiga n’omubaka we Buikwe Dr Lulume Bayiga.
Busujju egudde maliri ne Ssingo 0-0 mu kisaawe e Maanyi ate nga Kyadondo ekubye Kkooki goolo 2-0.
Ebyo nga biri bityo, abadde omutendesi wa ttiimu y’essaza Busiro, Ibrahim Kirya, asuddewo omulimu guno nga agamba nti embeera ttiimu gy’erimu ebadde temusobozesa kwongera kukola.
Ibrahim Kirya agenze okusuulawo omulimu guno nga Busiro yakakubwa Ssese goolo 2-1 era nga mu mipiira 3 tenaba kuwangulayo.
Geoffrey Wasswa ne Micheal Kabali be basigadde be basigadde mu mitambo gya ttiimu eno.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe