Munnakenya era munnamateeka Martha Wangari Karua kyadaaki akwasiddwa ebbaluwa emukkiriza okuwolereza munna FDC Dr.Kiiza Besigye ne Hajji Obeid Kamulegeya, abatuusiddwa mu kooti y’amagye e Makindye.
Akakiiko akalondoola eby’amateeka aka Uganda Law Council, kakkirizza okuwa Karua ebbaluwa eyekiseera emukkiriza okukolera mu Uganda, wabula olwa nga 06 January,2025 webwazibidde nga tenamukwasibwa mu ngalo, olw’obukwakkulizo obumu bwebaabadde tebanatuukiriza.
Lord Mayor wa Kampala munnamateeka Erias Lukwago, agambye nti bakedde mu bank nebasasula ebisale byonna ebyabadde bikyasigalidde okufuna ebbaluwa eyo.
Ebbaluwa eweereddwa Martha Karua emukkiriza okuwolereza Dr.Kiiza Besigye ne Obeid Kamulegeya eteereddwako omukono gw’omuwandiisi wa kooti omukulu, Kisakye Mary Kaitesi.
Wakuwoza emisango gyokka egirambikiddwa ku file ya kooti y’amagye UPDF/GCM/040/2024.#