Club ya Manchester United egucangira mu liigi ya babinywera eya Bungereza, mu butongole efuumudde abadde omutendesi waayo Erik Ten Hag oluvanyuma lw’ebbanga lya myaka 2 n’ekitundu ng’atendeka club eno.
Erik Ten Hag agenze okugobwa ku mulimu guno, nga Manchester United yakamala okukubwa West Ham United goolo 2-1.
Agenze okugobwa ku mulimu guno, nga Manchester United eri mu kifo kya 14 ku ttiimu 20, era ewangudde emipiira 3 gyokka mu mipiira 9 egya liigi egyakazannyibwa season eno.
Munnansi munne era abadde omumyukawe Ruud Van Nisetlrooy yalondeddwa nga omutendesi ow’ekiseera owa Manchester United.
Erik Ten alese awangulidde Manchester United ebikopo 2 okuli ekya Carabao Cup ne FA Cup.
Manchester United etandikiddewo omuyiggo ogw’omutendesi omuggya.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe