Abantu basatu bafiiridde mu kabenje akagudde e Nakigo ku luguudo okuva e Jinja okudda e Iganga ekiro ekikesezza olwa leero nga 16 June,2025.
Maama n’abaana be 2 bebafudde, babadde basaabalira ku Bodaboda, omugoba waayo nemulemerera naagibuukako, neeyingirira loole No.UBD 434 F neebalinnya.
Sentebe wa Iganga Central Division Abu Kasimba nabalala ababaddewo bategezezza nti abaana bafiriddewo mbulaga, ate nnyaabwe akutuse addusibwa mu ddwaliro e Iganga.
Police emirambo egiggyewo negitwala mu ggwanika lye ddwaliro e Iganga. #
Bisakiddwa: Kirabira Fred