Emmundu saawa yonna yandiddamu okutokota wakati wab’Abayeekera ba M23 n’amagye ga government ya Democratic Republic of Congo.
Abayeekera ba M23 balangiridde nti bagenda kusitukiramu okulwanirira aba Tusti bebagambye nti basuse okuttibwa amaggye ga government ya DRC.
M23 erumirizza government okukolegana n’obubinja bw’abayeekera naddala akabinja ka FDLR akagambibwa okuba aka ba Hutu akatalima kambugu nabayeekera ba M23.
Mu kiwandiiko abayeekera ba M23 kyebafukumiza nga kitereddwaako omukono gwa Lawrence Kanyuka omwogezi wabayeekera bano ,babuulidde ekibiina ky’amawanga amagatte nensi yonna okutwaaliza awamu nti waliwo ekitta bantu ekigenda mu maaso ekyesigamiziddwa ku mawanga, nga kikolebwa ku beggwanga lyaba Tutsi abawangaalira mu bitundu okuli Kitchanga,Burungu, Kilorirwe ,nebirala ebisangibwa mu provinces okuli Ituri, North Kivu ne South Kivu.
Akabinja ka M23 kakolebwa eggwanga lyaba Tusti bano nga tebalima kambugu nakabinja ka FDLR akakolebwa eggwanga lyaba Hutu.
Abayeekera ba M23 okulangirira kino ,kize wakayita olunaku lumu ng’omukungu wekibiina ky’amawanga amagatte Alice Wairimu Nderitu kyaggye afulumyewo ekiwandiiko ekyamangu ekirabula ku kitta bantu ekisitudde enkundi mu bitundu bye Ituri.
Alipoota eno yalaze nti ngennaku z’omwezi 13 omwezi guno ogwa January ,waliwo obulumbaganyi obwakolebwa ku bantu babulijjo ku byalo okuli Nyamamba,Mbogi mu Province ye Ituri, abantu babulijjo 49 nebattibwa, saako entaana bwaguuga ezaazuulibwa nga muziikiddwamu abantu.
Kinnajjukirwa nti ku nkomerero y’omwaka oguwedde, ekibiina ky’amawanga amagatte ki United Nations kyalabula government ya DRC okuyimiriza mbagirawo okukolagana n’obubinja bw’abayeekera okulwanyisa abalabe ba government.