Abayizi 25 bayimiriziddwa ku misomo gyabwe, okuma aebbanga eriri wakati w’omwaka omulamba n’emyaka 4, so ng’akulira abadde akulira abayizi Benjamin Akiso ye ayimiriziddwa obutaddamu kusomera mu University eno, wadde okulinnyayo.
Ebbaluwa eyimiriza abayizi bano eteekeddwako omukono gw’amyuka ssenkulu wa Kyambogo University, Prof. Eli Katunguka Rwakishaya.
Abayizi 9 bayimiriziddwa okumala omwaka gumu n’ekitundu, 2 bayimiriziddwa okumala emyaka 4.
Abayizi bano kigambibwa nti beenyigira mu kwekalakaasa okwataataganya emirembe mu ssetendekero, okuziba enguudo, nokusiiwuka empisa ebimenya amateeka ga University agaakolebwa mu mwaka 2003.
Prof Dr. Elly Katunguka Rwakishaya, agambye nti mu lutuula olwe 111 olw’olukiiko olw’okuntikko olwa Kyambogo University, olwatuula nga 27 June,2025, kyakanyiziddwako abayizi bano bagobwe naabamu bayimirizibwe olw’ebikolwa ebyaliwo.
Prof Dr. Eli Katunguka-Rwakishaya, agambye nti abayizi abagobeddwa naabayimiriziddwa mu ssetendekero tebakirizibwa kuddamu kusaalimbira ku kitebe kya ssetendekero, yadde okukozesa ebikwata ku ssetendekero.
Wabula omukulembeze w’ekibiina ekya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine, akulira ekibiina ky’eby’obufuzi Benjamin Akisomwaava, agambye nti ensonga zino ssetendekero kwesinzidde okugoba abayizi zeekuusa ku byabufuzi nokwagala okulinyirira eddembe lyabayizi eryokweyogerera.
Bisakiddwa: Ddungu Davis