Omukulembeze wékibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine awadde abantu be Serere amagezi nti balonde enkyukakyuka mu kalulu akagenda okubaayo ku lwókuna lwa wiiki eno ak’okujjuza ekifo kyómubaka wa Serere county.
Kyagulanyi Sentamu abadde mukunoonyeza munna kibiina kya ANT Alice Alaso akalulu, mwategerezza nti amagye gatandiise okuyiibwa e Serere nti nekigendererwa ekyókutiisatiisa abantu okulonda government byeyagala.
Kyagulanyi wano wasinzidde nategeeza abantu be Serere nti tebatiisibwatiisibwa nebava ku mulamwa, wabula basigale nga banyweredde ku nsonga.
Mu ngeri yeemu nómukulembeze w’ekibiina kya ANT Gen Mugisha Muntu naye yemulugunyizza ku magye agayiiriddwa mu kalulu kano, ng’agamba nti amagye edda tegaakolanga bino ebyókwenyigira mu bululu naye kati nti bakikola kyere.
Kakuyege e Serere akomekerezebwa lunaku lwankya era nga president Yoweri Kaguta Museveni asuubirwa naye okwegatta mu kakuyege ono, ng’asabira munna NRM Oucor Philip akalulu.
Abantu bataano bebavuganya mu kalulu ke Serere okuli Eratu Emmanuel wa FDC, Onguruko Martin ne Omoding Emmanuel talina kibiina mwebajidde, Oucor Philip wa NRM ne Alice Alaso wa ANT.
Bisakiddwa: Lukenge sharif