Ssentebe w’olukiko olukulu olukulembera Kyadondo Cbs PEWOSA Sacca Omukungu Micheal Kawooya Mwebe azzeemu okulondebwa ku kisanja ekirala wamu n’olukiiko lwe lwonna olubaddeko okukulembera Sacco eno.
Omuk.Kawooya ategeezezza nti Sacco gyakulembera yakwongera okukozesa Technology okwaguyiza banna kibiina okufuna empeereza mu bwangu awatali kutwala budde buwanvu n’okutambula engendo empanvu.
Awadde ba memba alipoota ya Sacco y’omwaka 2022 mu Taabamiruka ow’omulundi ogwo 03 ayindidde ku Lubaga Teachers Hall.
“Ndi musanyufu okubategeeza nti omwaka 2022 weguggweereddeko nga tetuyimiridde bubi mu byensimbi.
Kino kivudde ku kukolera awamu nga abakulembeze mu kutaasa SACCO yaffe obutataaganyizibwa bizibu ebizze bitutomera” -Omuk. Michael Kawooya Mwebe
Mu ttabamiruka ono mwebalondedde akakiiko akaggya, n’okutongoza bamemba abapya 910 abegasse ku Kyadondo Cbs PEWOSA Sacco, abayingidde mu mwaka gwa 2023.
Ssentebe asabye ne bamemba okwongera okugula emigabo emingi mu Sacco era nawera nti omwaka guno bakwongera obuyiiya mu Kyadondo Cbs PEWOSA Sacco, n’ekigendererwa ekyokutumbula embeera z’abantu ba Ssabasajja Kabaka.
Minister omubeezi ow’obusuubuzi n’obwegassi mu bwa Kabaka bwa Buganda ategezezza nti buli kibiina kyo bwegasi kisanye okutuuzanga Ttabamiruka, okusobozesa bamemba okumanya ebigenda mu maaso mu kibiina.

Asabye banna kibiina okwongera amaanyi mu nkola ey’obwegassi okusobola okufuna eddoobozi erya wamu n’okwekulakulanya .

Ssenkulu wa Kyadondo Cbs PEWOSA Sacco Nansubuga Barbra anyonyodde ebintu ebyenjawulo ebikolebwa omuli okuwola Loan eza Ssekinomu ,School Fees ,Ttaka Loan,business loan n’ebirala.
Nansubuga asabye abazadde okuyigiriza abaana okutereka n’okubayigiriza emirimu gy’emikono kibayambe okwekulakulanya.
Ekibiina kya Bonnabagaggawale e Naalya kiwangudde pikipiki kapyata mu Kalulu “Kabbokamuwala” aka Kyaddondo CBS PEWOSA SACCO.
Abawangula akalulu kano bayita mu kugula emigabo n’okutereka ensimbi ez’envumbo.
Akaasooka kaalimu okuwangula school fees eri ebibiina n’abantu Ssekinnomu.
Bisakiddwa: Nakato Janefer
Ebifaananyi: MK Musa