Akakiiko ka Uganda Law council kyaddaaki kawadde ebbaluwa ey’ekiseera eri munnakenya, era munnamateeka Martha Karua emukkiriza okugenda mu kooti awolereze munna FDC Dr. Kiiza Besigye ne Hajji Obeid Lutale.
Mu lutuula lw’akakiiko kano olwasooka kaagaana okuwa Martha Karua ebbaluwa eno, nga kagamba nti yalina empapula ez’essimba zeyali tatadde ku foomu esaba okukkirizibwa okuwoleza emisango mu Uganda, nga kwotadde n’ensonga z’eby’obufuzi ezeetobese mu musango guno.
Wabula munnabyabufuzi era munnamateeka Martha Karua ng’ayita mu Uganda Law society ekulirwa Isaac Ssemakadde yajulira ku byali bisaliddwawo Uganda Law Council, ng’eno ekulirwa Omulamuzi wa kooti ejukirwamu Justice Irene Mulyagonja, emaze.n’ekkiriza nemuwa ebbamuwa awatali kwesalamu.
Dr.Kiiza Besigye yakwatibwa ne Obeid Lutale e Kenya nga 16 November, 2024, bweyali agenze okwetaba ku mukolo gw’okutongoza akatabo akawandiikibwa Martha Karua.
Bakomezebwawo mu Uganda nebasimbibwa mu kooti y’amagye gyebaaggulwako omusango gw’okusangibwa n’emmundu n’okugezaako okutabanguala eggwanga.
Bisakiddwa: Betty Zziwa