Kyabazinga William Gabula Nadiope IV atikkiddwa masters degree eyokubiri ekwata ku mbeera z’ensi yonna okuva mu Jackson School of global affairs mu Yale University mu USA.
Abantu ba Busoga bebazizza Kyazinga olw’okubeera ekyokulanirako eri abavubuka, okwettanira okusoma n’ebyenjiriza byonna okutwaliza awamu.
Kyabazinga Gabula Nadiope IV alina masters degree endala mu nzirukanya ya business eya MBA management okuva mu Coventry University Uk, ne bachelor’s degree mu byenfuna okuva mu Kyambogo University.