Ministry y’ebyensimbi n’okutekeratekera eggwanga ewaddeyo ekiwandiiko ekimanyiddwanga Certificate of Financial Implication eri ababaka ba parliament abawomye omutwe mu bbago ly’etteeka erigenda okulwanyisa obufumbo n’omukwano ogw’ebikukujju mu ggwanga.
Certificate eno yeraga obulabe ebbago lino bweririna eri eggwanika ly’eggwanga, songa era certificate eno eyoleka nti government neteefuteefu okussa mu nkola etteeka lino singa liba liyisiddwa..
Certificate eno mu mbeera yeemu eyoleka nti government esemba ebbago lino lyanjulwe.
Ebbago ly’etteeka lino okuva lweryayogerwako nti ligenda kubagibwa, wabaddewo ebibuuzo bingi oba ministry y’ebyensimbi enawaayo certificate eno, olw’ensonga nti amawanga mangi agawagira omuze gwebisiyaga ate gavujirira Uganda n’obuyambi buyitirivu okuli ensimbi nebirala ebiwanirira embalirira y’eggwanga.
Omubaka wa Bugiri Municipality Asuman Basaalirwa awomye omutwe mu bbago lino, essaawa yonna asuubirwa okuweebwa obudde okulyanjulira parliament mu butongole era lisomebwe omulundi ogusooka, olwo lisindiikibwe mu kakiiiko okulyekeneenya.
Akakiiko ka parliament akalondoola eby’amateeka kekagenda okulyekeneenya, era nga kigambibwa nti singa tewabaawo kikyusibwa, kirowoozebwa nti lyandiyisibwa wiiki eno.
Akakiiko Kano akeby’amateeka ensonda zibuulidde radio CBS nti kandiweebwa ennaku 2 zokka okwekeneenya ebbago lino ,kanjule alipoota yaako mu parliament n’oluvannyuma eriyise.
Ebbago lino Anti Homosexuality Bill 2023, liteereddwamu ebibonerezo eri abeenyigira ku muzze guno, abagutumbula, abasikiriza abalala naabo abakkaka abalala okwenyigira mu muzze guno.
Ebibonerezo bino kuliko okusibwa emyaka 10 eri abeenyigira mu mukwano ogw’ebikukujju n’okutanza abo abatumbula obugwenyufu buno nga bakusatanga ensimbi obukadde 100 singa gubakka mu vvi.
Kinnajjukirwa nti mu mwaka etteeka lyerimu bweryayisibwa 2014, court yalisazaamu oluvanyuma lw’abamu ku babaka okuddukira mu kkooti okuwakanya engeri ebbago lino gyeryayisibwamu nti omuwendo gwabwe ogwessalira gwali teguwera.
Parliament mu mwaka 2014 bweyayisa ebbago lino, ensi nnyingi ezaali ziwa Uganda obuyambi zaabusalako era government yeesanga mu kusoomozebwa.
Omusoomozebwa mu kiseera kino oluvanyuma lwa ministry y’ebyensimbi okuwaayo certificate eno emanyiddwanga certificate of financial implication ,kwekulaba oba amawanga agawa Uganda obuyambi era ganaabusalako nga bwegaali gakoze mu mwaka 2014.#