Kooti egobye omusango ogubadde guvunaanibwa ba Commissioner ba Parliament ogwawaabwa Bweete Daniel, eyagisaba erangirire nti akasiimo akaabaweebwa tekaali mu mateeka.
Omulamuzi Dr. Douglas Karekona Singiza owa kkooti enkulu mu Kampala mu nsala ye ategeezezza, nti akasiimo akaweebwa Commissioner Owek. Mpuuga Nsamba ne Commissioner abalala kaayita mu mitendera gyonna egy’amateeka, nga mwemwali obukiiko bwa Parliament ne Parliament eyawamu, n’olukiiko lwa ba minister.
Omulamuzi agambye nti ensimbi zino zaayisibwa ne mu mbalirira y’eggwanga eyawamu era nezikakasibwa omukulembeze we ggwanga, era nga obumulumulu obulimu bulina kubuuzibwa Kalaani wa Parliament sso ssi ba Commissioner.
Omulamuzi era agaanye n’okusaba kwa Bweete eyali asabye okuyimiriza Olukiiko olufuzi olwa Parliament obutaddamu kuyisa nsimbi bwezityo.
Omulamuzi awadde amagezi, nti Ssabawolereza wa government ateekewo mangu olukiiko olwetengeredde olulondoola n’okulambika emisaala gyabannabyabufuzi , ensako awamu n’obusiimo bw’abakozi ba Government, okuteekawo obwenkanya mu ngereka y’emisaala
Omulamuzi Singiza era alagidde buli ludda lwesasulire ensimbi zerusaasaanyizza mu musango guno.
Ba Commissioner ba parliament ababadde bavunaanibwa okuweebwa akasiimo bali 4, nga baagabana shs akawumbi kamu n’obukadde 700.
Buli omu yafuna obukadde 400, wabula Mathias Mpuuga Nsamba yafuna obukadde 500, ng’asiimibwa n’emirimu gyeyakola bweyali ng’akulira oludda oluvuganya government mu parliament.
Bisakiddwa: Betty Zziwa