Kooti ewuliriza emisango gy’obulyake n’obukenuzi eragidde ababaka ba parliament 3 Yusuf Mutembule owa Bunyole East, Paul Akamba owa Busiki Constituency ne Donozia Cissy Namujju omubaka omukyala owe Lwengo, bazzibweyo ku alimanda.
Ababaka babadde basabye kooti ebayimbule ku kakalu kaayo, nga bagamba nti balina amaka gyebabeera era bakudda mu kooti nga bwebanaaba balagiddwa.
Omubaka Mutembule agambye nti amaka ge gali mu Butalejja district ne Bukasa Bweyogerere Wakiso, ate aga Namujju Cissy gali Ziranumbi cell Busaabala ward Makindy, so nga Akamba agage gali Kyanja Central zone mu Nakawa Division.
Wabula omuwaabi wa government Jonathan Muwaganya agambye nti eky’okuba n’amaka tekimatiza, era tebalina bukakafu bwebaleese obulaga nti bakudda mu kooti nga bwebanaaba balagiddwa.
Kooti etaddewo olwa nga 05 August,2024 lwanawa ensala ku kusaba kwabwe.
Kigambibwa nti ababaka bano abasatu ng’ennaku z’omwezi 13 May,2024 ku hotel Africana, bwebaali basisinkanye ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Mariam Wangadya nebamulagira abateeremu ensimbi ebitundu 20% mu mbalirira y’ekitongole kye ey’omwaka 2024/ 2025, basobole okumuyamba okugiyisa.
Bisakiddwa: Betty Zziwa