Kkooti ensukkulumu egobye okujjulira kw’omusuubuzi Humphrey Nzeyi ng’awakanya ekyasalibwawo bbanka ya Uganda enkulu okuggala n’okutunda bbanka y’ebyobusuubuzi eya National Bank of Commerce mu 2012.
Abalamuzi 7 nga bakulembeddwamu Prof. Lillian Tibatemwa Ekirikubinza beebagobye okujulirira kwa Nzeyi, nga bagamba nti omusango gwe yaguwaaba mu kkooti ya ssemateeka mu bukyamu, era ne bategeeza nti omusango guno yandibadde oguwaaba mu kkooti enkulu.
Ebiwandiiko biraga nti Nzeyi, nga y’omu ku bantu abaalina emigabo era nga ye yali director wa bbanka eno yeekubira enduulu mu kkooti etaputa ssemateeka ng’awakanya okusalawo kwa bbanka ya Uganda wamu ne government okutwala, okuggala n’okutunda bbaka ye byebyobusubuuzi eya NBC.
Kigambibwa nti bbanka eno baajiguza Crane Bank Uganda Limited ng’eno nayo oluvannyuma yamala neggalwawo.
Nzeyi yategeezezza kkooti etaputa ssemateeka nti ekintu kyokutwala bbanka ye kityoboola eddembe erimuweebwa ssemateeka.
Wabula 4 ku balamuzi 5 abawulira omusango gwe baagugoba mu mwaka gwa 2000, nga bagamba nti yaguwaaba mu kkooti nkyamu.
Nzeyi teyamattra nansala ya kkooti ya ssemateeka era bwatyo n’ajulira mu kkooti ey’oku ntikko nga yesigama ku nsonga mwenda, kyokka kati abalamuzi 7 abomu kkooti eno bakugobye.
Abalamuzi bano mu nsala yaabwe eyawandiikiddwa Omulamuzi Percy Night Tuhaise bakikkaatirizza nti Nzeyi omusango gwe yaguloopa mu kkooti nkyamu.
Bagambye nti omusango gwa Nzeyi gwali kutegekeddwa kuloopebwa mu kkooti enkulu sso ssi mu kkooti etaputa ssemateeka.
Bisakiddwa: Betty Zziwa