Kooti enkulu mu Kampala eyimirizza kooti ento eya Buganda Road okuwulira omusango oguvunaanibwa president w’ekibiina ekigatta bannamateeka ki Law Development Centre, Isaac Ssemakadde, ogw’okuvoola n’okuvvoola Ssaabawaabi w’emisango gya government Jane Frances Abodo.
Omulamuzi wa kooti enkulu Paul Gadenya agambye nti kooti enkulu yakusooka okuwuliriza okusaba okwateekebwayo Ssemakadde eyasaba nti omusango ogwamuwaabirwa nti gugobwe.
Kooti etaddewo olwa nga 07 May,2025, enjuuyi zombi okuba nga zitaddeyo ennambika zaazo mu musango guno.