Kkooti enkulu ewozesa abalyake n’abakenuzi egobye okusaba kwa Michael Naboya Kitutu ng’ono ye muganda wa minister avunaanyizibwa ku nsonga ze Karamojja Mary Gorreti Kitutu, mwabadde awakanyiza eky’okuwozesebwa mu kkooti e Kampala gyalumiriza nti teyina buyinza.
Naboya Kitutu ng’ayita mu Bannamateeka be baasaba kkooti enkulu okulagira nti fayiro y’omusango gw’okwezibika amabaati g’abawegyere be Karamojja oguvunaanibwa Naboya, gutwalibwe mu kkooti e Namisindwa oludda oluwaabi gyerugamba nti gyeyaddiza emisango gino.
Mu nsala y’omulamuzi Jane Kajuga agaanye okusindika fayiro eno e Namisindwa, ategeezezza nti kkooti e Kampala eyina obuyinza okukola ku fayiro eye Namisindwa.
Minister Kitutu ne banne okuli minister Amos Lugoloobi, minister Agnes Nanduttu, Joshua Abaho omuyambi we ne Naboya Kitutu mugandawe bavunaanibwa emisango gy’obuli bwenguzi.
Oludda oluwaabi lubalumiriza okwezibika amabaati agasukka14,500 agaali agabawejjere be Kalamojja, wabula emisango egyo bagyegaana era bawoza bava waka.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam