Omuvubuka ow’emyaka 30, Kiwanuka Briton, abadde azze okuggyayo empapula okuvuganya ku kifo kya Ssentebe we kibiina w’eggwanga, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Dr.Tanga Odoi bwakamutemye nti empapula z’okwewandiisa okuvuganya ku kifo kino nti zibadde teziriiwo.
Tanga Odoi amutegeezezza nti alina okugumiikiriza okutuusa ku Friday nga 04 July,2025, obutasukka ssaawa mukaaga, lwajja okusobola okuzifuna awandiisibwe.
President wa Uganda era nga ye ssentebe wa NRM aliko Gen.Yoweri Kaguta Museveni, yaggyeyo dda empapula era yeyekka eyakakkirizibwa okwesimba ku kifo kino.
Wabula Kiwanuka Briton agamba nti kino sikyabwenkaanya okumugaana okumukandaaliriza, ekiyinza okumulemesa okuvuganya, sso ng’ekibiina kyabasaba shs obukadde 20 era nga yabusasudde.
Annyonyodde nti ekimuleese okuvuganya ku kifo kino kwekusobola okulambika obulungi ekibiina kyabwe, nti kubanga ssentebe aliko alina bingi ebikyamulemye okukola, olw’obutaba na budde bumala, nti kubanga alina emirimu gy’eggwanga mingi gyalina okukwasaganya.#