Munnabyabufuzi omugundiivu era eyaliko Ssaabaminister wa Kenya Raila Omoro Odinga afiiridde India ku makya ga leero nga 15 October,2025 ku myaka 80 egy’obukulu
Yazaalibwa nga
Odinga abadde amaze akaseera nga mukosefu, naye nga waafiiridde abadde akubye ku matu.
Abadde akedde okutambulako mu ddwaliro mu ngeri y’okukola dduyiro naasinzittuka naagwa naafiirawo.
President wa Kenya Dr.Samoei William Ruto alangiridde wiiki namba ey’okukungubagira Baba Raila Odinga.
President Ruto agambye nti odinga wakuziikibwa mu bitiibwa by’eggwanga ebijjuvu, okusiima emirimu gy’akoledde eggwanga.
Mu ngeri yeemu president Ruto agambye nti India yeyamye okuvujjirira enteekateeka zonna ez’okukomyawo omulambo mu Kenya.












