Club ya Kitara eya Uganda olwa leero nga 23 August,2024 ekomawo mu kisaawe okuzannya ne club ya Al Hilal Benghazi eya Libya mu mpaka za CAF Confederations Cup omutendera ogwa preliminary.
Omupiira guno gugenda kuzannyibwa mu kisaawe kya Martyrs of Benina mu kibuga Benghazi kusaawa 1 eyakawungeezi.
Omupiira guno gwaluzannya olw’okuddingana.
Oluzannya olwasooka Kitara nayo lwe yakyaliza mu kisaawe kye kimu ekya club ya AL Hilal, baagikuba goolo 3-2.
Mu mupiira ogwo Kitara yagumalako n’abazannyi 10 olw’omukwasi wa goolo Crispus Musiima okufuna kaadi emyufu, nga kati Yawe Farouk yagenda okubeera mu miti gya goolo.
Kitara okuyitawo yetaaga obuwanguzi bwa goolo 2-0, era ttiimu eyita wano egenda kuttunka ne Al Masary eya Misiri ku mutendera oguddako.
Kitara ekiikiridde Uganda mu mpaka zino kuba yeyawangula empaka za Uganda Cup season ewedde.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe