Kira municilality etadde omukono kundaagaano eyokukola enguudo okuli Oluguudo lwa Mbogo , Bishop Cyprian Kizito road oluweza Kilometer 9 wamu n’oluguudo lwa Kungu _ Bivanju olwa Kilometres 2.3 .
Omulimu gukwasiddwa kampuni ya M/S CHONGQING INTERNATIONAL CONSTRUCTION CORPORATION (CICO) munteekateeka ya Greater Kampala Metropolitan Development Urban Area.
Kira municipality yakufuna obuwumbi bwa shs 173 okukola enguudo ezenjawulo.
Bw’abadde akulembeddemu enteekateeka eno ku kitebe kya kira municipality , Minister wa kampala Hajati Minsa Kabanda, alabudde ba contractor abawereddwa omulimu guno okwewala okugaba enguzi eri omuntu yenna, ekiyinza okubaviirako obutatuukiriza bulungi mirimu gyibawereddwa.
Omubaka wa kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda asinziridde wano nalabula abali kumulimu guno obutazaanyira mu ssente zino Uganda zegenda nga yewola buli kiseera, eziviiriddeko ebbanja lyeggwanga okulinnya nti nga Kati Uganda ebanjibwa Trillion ezikunukiriza mu 100 .
Town Clerk wa Kira Municipality Benon Yiga asiimye abatuuze abaliraanye enguudo zino, abatadde emikono ku mpapula ezikkiriza okutwala ekitundu kubttaka lyabwe enguudo zikolebwe, kati batuuse mu bitundu 80%.
Bisakddwa: Tonny Ngabo