Abatuuze be Kyamuliibwa mu district ye Kalungu basuze ku tebuukye, olwa kibuyaga eyasuze ng’akunta n’asuula amayumba gabwe.
Ennyumba ezisoba mu 50 tezisigazza Busolya.
Zisaangibwa mu muluka gwe Kitosi ne Busoga.
Enkuba yabadde etonnya wabula abatuuze abamu olwawulidde nga kibuyaga atandise okukunta nebafuluma ebweru nga batya ennyumba okubagwira.
Police yatuuse mangu netandika okulawuna ekitundu okulaba oba waliwo abakoseddwa bataasibwe mu bwangu.
Tewannabaawo muntu azuulibwa nga yafiiriddemu kibuyaga ono.
Essomero lya Kisoga Umea n’ekanisa ye Kasaka ebadde yakazimbibwa nabyo bitikkuseeko akasolya.#
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru