Abazannyi abazannyira emitala wa mayanja bongedde okwegatta ku nkambi ya ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes wakati mu kwetegekera okuzannya ne Botswana ne Algeria mu mpaka ez’okusunsulamu amawanga aganakiika mu World Cup wa 2026.
Uganda Cranes esuzibwa ku Cranes Paradise Hotel e Kisasi ate n’etendekebwa mu kisaawe e Namboole.
Abazannyi abalala abazannyira emitala abegasse kunkambi kuliko Khalid Aucho azannyira mu club ya Yanga eya Tanzania, Abdul Azizi Kayondo ne Fahad Bayo abazannyira mu Czech Republic.
Omuzannyi Bobosi Byaruhanga azannyira mu club ya Austin eya America naye asuubirwa okwegatta ku ttiimu eno esaawa yonna.
Omutendesi wa Uganda Cranes, Paul Joseph Put, yayita ttiimu yabazannyi 28 okwetegekera emipiira gy’ombiriri.
Uganda Cranes egenda kusooka kuzannya ne Botswana ku Friday nga 07 June,2024, ate ezeeko Algeria nga 10 June, nga gyonna gyakubeera mu kisaawe e Namboole.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe