Government ya Kenya egyewo ekkoligo lyeyali etadde ku mata agava mu mawanga ga East Africa nga ne Uganda mwogitwalidde.
Ekitongole Kya Kenya ekivunanyizibwa ku mata ki Kenya Dairy Board wiiki ewedde kyayisa ekiragiro eri abasuubuzi bamata bonna mu Kenya okuyimiriza okusuubula amata agava mu mawanga amalala.
Ekitongole kino Kenya Dairy Board kyategeeza nti Kenya yali erina amata agamala olwenkuba ettonnya.
Wabula ministry ya Kenya eyeby’obulimi n’obulunzi egyewo ekkoligo lino ,era mu mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ministry eno nga litereddwako omukono gw’omuteesiteesi omukulu mu ministry eyo Harry Kimtai ,kinyonyodde nti amata agava mu mawanga ga East Africa ekkoligo terigakwatako.
Kenya yesinza akatale k’amata ga Uganda agasinga obungi.
Omumyuka asooka owa ssabaminisita wa Uganda era minister w’ensonga z’omukago gwa East Africa Rebecca Alitwaala Kadaga agumizza abasuubuzi bannauganda okugenda mu maaso n’emirimu gyabwe egy’okutwala amata mu Kenya.#