Kyadaaki kitongole kya Kampala Capital City Authority kifulumizza obuwumbi bwa shs 2.7, ezigenda okusasulwa abakozi abalongoosa enguudo oluvannyuma lw’okwekalakaasa.
Abakozi bano bamaze bagamba nti baakoma okusasulwa omusaala gwabwe mu November,2023 kati gy’emyezi 5 gyebabanja.
Guno gubadde mulundi gwa 2 nga bekalakaasa, nga n’ogwasooka gwaliwo mu February 2024, lwebaalumba parliament nga bagala eyingire mu nsonga zabwe.
Sipiika wa Parliament Anita Among yasisinkana abakulu mu KCCA nebakkiriza okusasula abakozi bano, wabula okuva olwo babadde tebasasulwangabnga KCCA egamba nti terina sente okutuusa lwebazeemu nebekalakaasa nebalumba offiisi z’abakulira ekitongole.
Minister omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye alabudde abakulu mu kitongole kya KCCA okukomya okulindanga abantu okwekekalakaasa okubawa ensimbi zabwe
Mungeri yemu agambye nti waliwo n’abakozi abalala abaapatanibwa okusimba ebimuli n’okulongoosa enguudo Ugand bweyali yetegekera okutuuza olukungaana lwa Non Allied Movement (NAM) olwaliwo mu January 2024, nga nabo tebasasulwa, nalabula abakulu mu KCCA okibakolako mu bwangu.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif