Club ya KCCA ezeeyo ku ntikko ya Uganda Premier League bw’erumbye club ya Mbale Heroes omwayo mu kisaawe e Mbale n’egikubirayo goolo 1-0.
Goolo ewadde KCCA obuwanguzi tebeddwa Bright Anukani, era ye goolo y’omuzannyi ono esoose okuva lwe yavudde mu Vipers n’akomawo mu KCCA kuntandikwa ya season eno.
KCCA kati ekulembedde liigi eno n’obubonero 14 okuva mu mipiira 6 ate nga Mbale Heroes esigadde ya 15 ku ttiimu 16 n’obubonero 4 bwokka.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe