Club ya KCCA FC mu butongole erangiridde nga bwezeemu okukansa omuwuwutanyi Bright Anukani okuva mu club ya Vipers, mu kiseera nga club za liigi ya babinywera eya Uganda Premier League zetegekera season ejja eya 2024/25.
Bright Anukani yali yasambirako club ya KCCA ku bwazike okuva mu club ya Proline, mu season ya 2020/2021.
Bw’akomyewo atadde omukono ku ndagaano ya myaka 3 ng’acangira KCCA FC endiba.
Endagano ye ne Vipers yaweddeko mwezi oguyise ogwa June.
Bright Anukani kati afuuse omuzannyi wa 6 KCCA beyakagula mu kwetegekera season ejja, nga abalala ye Steven Munguchi, Shafiq Kwikiriza Nana, Shalif Ssengendo, Isa Mubiru ne Emmanuel Anyama.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe