Club ya KCCA FC eya Uganda Premier League mu butongole erangiridde nga bwekansizza omuzannyi Emmanuel Anyama mu kwongera okuggumiza ttiimu eno okuvuganya obulungi season ejja.
Emmanuel Anyama atadde omukono ku ndagaano ya myaka 4 ng’acangira KCCA FC endiba.
Avudde mu club ya Kaaro Kalungi eya FUFA Big League.
Season ewedde eya 2023/24 yakwata ekifo kyakusatu mu kuteeba goolo ennyingi mu FUFA Big League, zaali goolo 12.
Anyama yegasse ku bazannyi abalala abaguliddwa KCCA okuli Humphrey Oyirwoth omukwasi wa goolo eyaweereddwa endagaano okuzannyira KCCA okutuuka season ya 2028/29.
Kwikiriza Shafiq Nana gwe bafunye okuva mu club ya BUL, Steven Munguchi gwe bafunye okuva mu club ya UPDF.
Abazannyi okuli Ashiraf Mugume ne Mutwalibi Mugolofa bbo bazizza buggya endagano zabwe ne KCCA FC.
KCCA era ekyali mu nteekateeka ez’okwogereza omuteebi Shaban Muhammad okwongezayo endagaano ye.
Ng’etendekebwa omutendesi Abdullah Mubiru, season ewedde yakwata ekifo kyakutaano n’obubonero 49 era teyawangulayo kikopo kyonna.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe