Ebyongedde okuzuuka ku nkayaana wakati wa Meeya wa Division ye Makindye Hajji Nganda Ali Kasirye Mulyanyama ne Lord Mayor wa Kampala Ssaalongo Elias Lukwago ku nsonga za ttiimu y’omupiira eya KCCA FC, biraze nti Omuloodi tawandiikirangako Mulyanyama bbaluwa yonna butereevu emuyimiriza kubwa memba ku lukiiko olufuzi olwa ttiimu eno.
Lukwago ye muyima wa club ya KCCA FC, so nga Mulyannyama ye mukiise wa ba mayor ba Kampala ku kakiiko akakulembera tiimu ya KCCA FC.

Okusinziira ku bbaluwa erabiddwako omusasi waffe, omuloodi Ssaalongo Elias Lukwago gyeyawandiise , yagiwandikidde Ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Tiimu ya KCCA Fc Martin Ssekajja ng’amutegeeza kwebyo ebyasaalibwaawo mu nsisinkano eyatuula ng’ennaku z’omwezi 27 /3/2023.
Ensisinano eno yetabwamu olukiiko lwa Lord Mayor olwa central exective committee okwaali Omuloodi yennyini Ssaalongo Elias Lukwago omumuyuu
ka we Doreen Nyanjula, abakiise Olive Namazzi, John Mary ssebuufu neHakim Kizza Saula.
Abalala kwaliko Olukiiko olukulira eby’ekikugu mu KCCA olwakulemberwamu amyuka exective Director wa KCCA Eng David Luyimbaazi.
Ensisinkano eno era yetaabwamu olukiiko olufuzi olwa Ttiimu ya KCCA FC olukulemberwa Martin Ssekajja nga ssentebe , omumyukawe Agrey Ashaba ,ba memba ba Board bonna okuli Mayor we Makindye Division Ali Mulyanyama , Tom Lwanga, Jeremia Keeya Mwanje nabalala.
Ensisinkano eno era yetaabwamu ssenkulu wa ttiimu ya KCCA FC Anisha Muhoozi.
Mu nsisinkano eno okusinziira ku bwino gwetufunye, abeetaaba mu nsisinkano baafuna alipoota ekwata ku ntambuza y’emirimu mu ttiimu ya KCCA FC, omulimu gw’okuzimba ekisaawe kya Ttiimu ekya Philp Omondi Stadium wegutuuse, n’engeri ttiimu gyetundamu abasambi.
Alipooya yalimu n’ensonda ezaanokolwayo ssabalondoozi w’ebitabo bya government John Muwanga, ku ngeri omulimu gwokuzimba ekisaawe gyegwali gutambula akasoobo.
Mu nsisinkano eno, Meeya wa Makindye Division Hajji Ali Nganda Mulyanyama gyeyetaabamu, kyasalibwawo nti wabeewo okunoonyereza okwenjawulo okuba kukolebwa akakiiko ak’ekiseera ku ngeri ttiimu ya KCCA FC gyeyali etundamu abasambi.
Mu nsisinkano eno, okusinziira kwebyo ebyateesebwako, erinnya lya meeya Mulyanyama lyanokolwayo nti yenyigira butereevu mu kutundibwa kw’abasambi ba ttiimu eno, era mu mbeera eyo, ensisinkano eno yasalawo nti meeya Mulyanyama agira addako ebbali ng’okunonyereza bwekukolebwa okutuusa lwekunakkomerezebwa.
Ebbaluwa eyogerwako radio eno gyerabyeko, omuloodi wekibuga Kampala Ssalongo Elias Lukwago,gyewandiikidde ssentebe wa Board ya KCCA FC Martin Ssekajja, yagiwandiise amutegeeza okussa mu nkola ebyo ebyasaalibwawo mu nsisinkano eyatuula ng’ennaku zomwezi 27/03/2023.
Wabula Mayor Mulyannyama abadde mu lukungaana lw’amawulire nakyoomera Lukwago ku byayise eby’okuzannya ebyobufuzi bye okumuttattanira erinnya, nti okuva Mulyannyama lweyalangirira nti ateekateeka kwesimbawo ku bwa lordmayor mu kulonda kwa 2026.
Ssaalongo Elias Lukwago agambye nti ensonga za ttiimu eno, nezeekisaawe teziriimu byabufuzi, wabula zigendereddwamu okutereeza emirimu gya ttiimu ya KCCA FC era alabudde nti teri muntu agenda kuttirwa ku liiso, singa kinaazuulwa nti aliko emivuyo egitattana tiimu gyeyenyigiramu.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius