KCCA FC ekubiddwa URA FC ku goolo 1-0 mu kisaawe e Wankulukuku, mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, goolo eno eteebeddwa Bruno Bunyaga mu dakiika eye 87, era KCCA esigadde mu kifo kya 5 n’obubonero 45.
Club ya NEC eri mu kifo 6 nayo erina obubonero 45.
Ate yo Club ya BUL eyongedde okwenywereza ku ntikko ya n’okutangaaza emikisa egy’okuwangula liigi eno, bw’ekubye club ya Gaddafi goolo 1-0 mu kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru.
Goolo ewadde BUL obuwanguzi eteebeddwa Lawrence Tezikya mu dakiika eye 84, era kati BUL ekulembedde n’obubonero 52 okuva mu mipiira 27.
Mungeri yeemu Kitara nayo eyongedde okugoba obuufu bwa BUL bw’evuddeko emabega n’ekuba club ya Busoga United goolo 3-2 mu kisaawe e Masindi, era Kitara yakubiri n’obubonero 51.
Villa Jogo Ssalongo nayo egenze mu kifo kyakusatu bw’erumbye UPDF omwayo n’egikubirayo goolo 2-0 mu kisaawe e Bombo, nga goolo zino zitebeddwa Jonah Kakande ne Hakim Kiwanuka, bwetyo Villa mu kifo eky’okusatu kati erina obubonero nayo 51.
Vipers esigadde mu kifo kyakuuna bw’esudde obubonero ku club ya NEC mu kisaawe e Lugogo, bwebagudde amaliri ga 0-0, era Vipers mu kifo eky’okuna erina obubonero 50.
Wakiso Giants ekubye Mbarara City goolo 2-0 mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso ate nga Maroons egudde maliri ne Bright Stars ga 0-0.
Buli ttiimu kiseera kino esigazza emipiira 3 okuggalawo liigi ya season eno, nga okulwana obutasalibwako kuli wakati wa UPDF ne Gaddafi.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe