Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti omulembe omutebi gujjudde okusomooza okwamanyi kyokka ebisomoozo bino tebyawukana ne byo ebyemirembe egyayita.
Bweyabadde aggalawo olusirika lw’olukiiko lwa Buganda olunaku lweggulo ku Buganda Royal Institute e Mengo, Katikkiro yanokoddeyo ebikolwa nga enguzi, okugulirira mu byobufuzi, obukulembeze obw’ennono obwekimpatira n’ebirala nga ebimu ku bisomooza omulembe guno.
Katikkiro era yasabye abantu ba Buganda bulijjo okunywerera nga ku Kabaka wabwe mu kusomozebwa kwonna nókunyweza empagi eyóbumu okutwala Buganda mu maaso.
Amyuka omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Ahmed Lwasa, yasabye abakiise bulijjo okwenyigiranga mu mirimu gy’obwakabaka nga Luwalo Lwange nemirala.