Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akinogaanyizza nti kati amaanyi agenda kugassa mu kutema mpenda ez’okukola ebintu ebyenjawulo ebizza Buganda ku ntikko.
Katikkiro agambye nti emyaka omwenda egiyise gibadde gyakukyusa mbeera z’abantu okubagazisa Kabaka wabwe, nokwerwanako ng’abantu kinnomu.
Awadde eky’okulabirako nti omulimu gubadde gwakuzimba birowoozo,abantu ebirowoozo babifunye n’obusobozi babulina,kati ssaawa yakufuna sente n’okwongera okuzisiga.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olwa leero lwawezezza emyaka 9 bweddu, bukyanga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II amulonda nga 12.5.2013.
Nga 29.5.2013 Ssaabasajja yasiima n’akwasa Katikkiro Mayiga Ddamula okumulamulirako Obuganda.
Omukolo gwali ku Wankaaki wÓlubiri e Mengo ,nóluvannyuma náyolekera Butikkiro ngákutte Ddamula.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yadda mu bigere bya eyali Katikkiro John Baptist Walusimbi.
Katikkiro Mayiga okuva olwo yasookera mu masinzizo agatali gamu okwekwasa Omutonzi mu byonna byazze akola, era azze asaba Katonda amulungamye mu buweereza bwaliko.
Mu myaka gino omwenda atambudde nómulamwa gwókukulembeza obwerufu nókukkaatiriza empagi eyÓbwesimbu mu buweereza obwenjawulo.
Mu kutandika emirimugye Katikkiro yateeka essira kukusomesa nókunnyonyola abantu ba Buganda ensonga ssemasonga eza Buganda omuli;
1-Okunyweza nÓkukuuma Namulondo.
2-Okugabana Obuyinza ne government eya Wakati mu Nkola eya Federo.
3-Okukuuma Ettaka n’Ensalo za Buganda yonna gye ziyita.
4- Okukola ennyo Obutaweera.
5-Obumu.
Mu nsonga ssemasonga mwemuva enteekateeka Namutaayiika ezóbwakabaka bwa Buganda, ezirambika kalonda wébintu byonna ebirina okukolebwa.
Namutayiika eyasooka owémyaka etaano egyasooka wa 2013-2018, addako wa 2018-2023 asigaddeko omwaka gumu gwokka agweko.
Katikkiro Mayiga yatongoza enkola eyatuumwa ETTOFAALI mu masaza ga Buganda nébitundu ebirala, okwongera okwagazisa abantu KABAKA wabwe, ne Buganda yonna okutwalira awamu.
Enkola yÉttoffaali yavaamu ebibala ebirabika nébitalabika.
Ekizimbe Masengere ekyali kimaze emyaka egisoba mu 30 kyamalirizibwa mu nkola yéttofaali.
Ettoffaali lyerimu lyasima omusingi okwazimbibwa Terefayina yÓbwakabaka BBS, era wano abavubuka nábakadde abasukka mu 1000 bayimiriddewo ku Terefayina.
Katikkiro mu ngeri yeemu yatongoza enkola ya Luwalo lwange abantu ba Ssabasajja okuva mu masaza agenjawulo mwebayise okukiika embuga , okusonda ensimbi eziyambako okuddukanya emirimu gya Beene egitali gimu, nÓkwongera okwagaza abaganda ebyabwe, nókwekkiririzaamu.
Mu kiseera kyekimu ekyémyaka mwenda, Katikkiro Mayiga akoze butaweera okuzzaawo Amasiro gaaba Ssekabaka e Kasubi, era werutuukidde olwa leero nga omulimu gwokuzzawo amasiro gano ogukulemberwa Owek Kaddu Kiberu gutambula bulungi ddala, era Omwaka guno gasuubirwa okugibwako engalo.
Mu bbanga lyerimu ery’emyaka omwenda , Katikkiro atadde mu nkola ekiragiro kya Beene ekyókuyamba abantu abetaaga okubeerwa nebazimbirwa ennyumba.
Ngóbwakabaka bukolegana nékitongole kya Nakyewa ki Habitat for Humanity, buzimbidde abantu abasukka mu 20 ennyumba ezomulembe.
Mu kusitula embeera zébyenfuna zábantu okulwanyisa obwavu, Katikkiro yatongoza enkola ya Mmwanyi Terimba mu Buganda, okusobozesa abantu okwerwanako nókweyimirizaawo.
Mu nkola eya Bulungi bwansi Katikkiro azze ejjukiza abantu ba Buganda okusimba emiti nga bayita mu mikolo egyenjawulo naddala egyókwanujula, okutaasa Buganda ne Uganda yonna okufuuka eddungu.
Bwábadde awayaamu ne CBS, Katikkiro Mayiga yebazizza obuwagizi bwonna obumuweereddwa Olulyo olulangira, abakulembeze b’eddiini, abataka ab’Obusolya, abakozi bóbwakabaka, abakulembeze bébyóbufuzi, abasuubuzi n’abantu kinoomu mu bbanga eryemyaka omwenda gyeyakamala ngákuuma Ddamula.
“Tewali nteekateeka yonna gyetwali tutandise netawagirwa, kale siyinza butebaza bantu ba Buganda” Katikkiro.
Katikkiro yebazizza abantu ba Buganda okusalawo okwegyamu endowooza y’okuweebwa nebatandika okwekolerera, nga bayita mu kulima emmwanyi, okulima emmere okulwanyisa enjala, n’okulunda okwegobako obwavu.
“essuubi lyange lyonna lyali mu kiragiro kya Ssaabasajja Kabaka kyeyatulagira, okusomesa abantu okuyiga okwekkiririzaamu n’okukomya okwenyooma, okwerwanako nga bakola ebintu ebibayamba okulwanyisa obwavu,baleme kulinda kuwebwa buwebwa, byonna tubikoze”.
Mukuumaddamula Mayiga agambye nti n’enteekateeka y’okuzimba enkola y’emirimu erambikiddwa obulungi, kimuyambye nnyo mu myaka gino omwenda nga ye Kamalabyonna wa Buganda.
Mu ngeri yeemu Katikkiro agambye nti ng’obukulembeze obulala bwonna webubeera n’okusomoozebwa, naye akufunye. Wabula agambye nti tayagala kwesiba kubisomooza era tayagala kubiwa budde,wabula okutema empenda ezibivuunuka n’okugenda mu maaso.
Wabula anokoddeyo ensonga y’ettaka ng’ebimu ku bimusomoozezza.
Alabudde abakulembeze abakola amateeka aganyigiriza Buganda nti bali mu kabi kennyini ,naasaba ebizze bibaawo ku bakulembeze abaasooka abaayisa amateeka amakyamu, n’okunyaga ettala lya lyabwo bibeere ekyokuyiga eri abakyali abalamu.
Katikkiro Mayiga agambye nti nebwebuliba ddi, Buganda yakweddiza ebintu byayo ebizze binyagibwa bannakigwanyizi.