Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agumizza abakiise b’olukiiko lwa Buganda olukulu, nti kikafuuwe teri muntu agenda kutema mu Buganda ng’akwata ku masiga asatu kwebutambulira.
Katikkiro abadde mu lutuula olusoose olw’olukiiko lwa Buganda olwa 31, nga asinziira ku bibuuzo ebimubuuziddwa Abakiise mu Lukiiko lwa Buganda abakulembeddwamu Owek Henry Kasacca.
Kamalabyonna agambye nti eby’abataka abaagenda okusisinkana president Yoweri Kaguta Museven, nti naye enteekateeka z’okugendayo teyazimanyaako.
Annyonyodde nti eby’ettaka president Museveni lyeyagulidde Abamu ku bataka okuzimbako ekitebe nti ebyo ssi kituufu era tebayinza kubikkiriza, nti kubanga abataka ba Buganda balamulira mu Mbuga zabwe ezisangibwa ku butaka.
Katikkiro alungamizza president Museveni okukwasizaako abataka ng’ayita mu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll, era naasaba abataka baleme kukema Bwakabaka.
Katikkiro agambye nti ekibinja ky’abataka abakulu ab’obusolya abaagenze okusaba president Museven ettaka yakikoze mu bukyamu nga tebagoberedde mitendera mituufu.
“Tewali mutaka wa kika yenna yetengeredde yekka. Tewali mukulu wa kika alina buyinza okuggyako obwo obumuwebwa Ssabasajja Kabaka. Era Kabaka alina obuyinza obutondawo n’obuggyawo ekika kyonna” – Katikkiro Mayiga
Katikkiro ategeeza nti mu bbanga ttono ddala, wagenda kubaawo enkiiko ezenjawulo ezigenda okwetegereza ensonga z’abamu ku bataka abasisinkanye omukulembeze w’Eggwanga awatali kugoberera kulambikibwa kwonna, bagambye nti baalidde eggi nebeesubya Omuwuula.
Katikkiro mungeri eyenjawulo asabye essiga eddamuzi okulowooza n’Okwefumiitiriza ku bubaka bw’Omuteregga, ligye abantu mu buyinike bwebalimu obw’Obutafuna bwenkanya ku misango egyekuusa ku ttaka, kko n’Okuwa Abavubuka amagezi okunyweeza ettaka n’Okulikolerako ebizimba , nga Omuteregga bweyabalambika bweyali aggulawo olukiiko luno olwa 31.#
Bisakiddwa: Kato Denis