Katikkiro wa Buganda Charlea Peter Mayiga asisinkanyemu abakulembeze b’Obukama bwa Bunyoro, bakkiriziganyizza okussaawo akakiiko ak’enjawulo akagenda okulondoola enkoka ezissibwawo okukulaakulanya abantu b’Obwakabaka bwombi.
Abasisinkanidde mu Lubiri lw’Omukama e Karuziika mu kibuga Hoima, ng’awerekeddwako ba minister ba Buganda n’abakulira ebitongole bya Buganda ebyenjawulo.
Abanyoro bamuyitiddemu ku nteekateeka zabwe ku by’obugagga ebiri mu kitundu kyabwe, naddala amafuta.
Bamubuulidde ebibasoomooza omuli ekibba ttaka, obwavu n’embeera y’ebyobulamu embi.
Oluvannyuma Katikkiro alambudde ebifo omugenda okusimwa amafuta mu kitundu kye Bunyoro ekyetoolodde ennyanja Muttanzige oba Albertine region.
Mu ngeri yeemu Katikkiro alambudde ekisaawe ky’ennyonyi ekizimbibwa okutuusizaako ebinaakozesebwa okusima amafuta.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Ekyobugagga ky’amafuta ekisangibwa mu Bukama bwa Bunyoro kikozesebwe mu bweerufu, kisobozese abantu mu Bunyoro ne Buganda okukyuusa embeera zaabwe.
Katikkiro asabye nti ensimbi ezigenda okuva mu kusima amafuta okukozesebwa okukuuma obutondebwensi, n’Okulwanyisa nawokeera w’Obwaavu.
Katikkiro mungeri eyenjawulo alabudde abalowooza nti enkolagana y’Obwakabaka ne Bunyoro teriiwo, naabasaba bakozese ebyafaayo babimanye bulungi.
Omuhikirwa wa Bunyoro Omuhikirwa Andrew Byakutaaga yeebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’enkolagana ennungi eyeeyolekera mu mirimu egitumbula Obukama, omuli emikutu gy’Amawulire CBS ne BBS Terefayina egikozeseddwa okutumbula Obukama n’Obwakabaka nga gikozesa amawulire, n’Okwagazisa bannansi Olulimi Oluganda.
Bisakiddwa: Kato Denis