Kyaddaaki government ya America esazizzaamu nnati zeyali erippye ku bamu ku bakungu ba government ya Burundi.President wa America Joe Biden aliko akiragiro ky’ayisizza nga kisazaamu nnati zonna ng’agamba nti ensonga eyali yaziteesaawo ezisinga zikoleddwako.
Biden agamba nti ekikukusa bantu kikendedde , obutabanguko nabwo bwakendeera, obulyake n’obukenuzi nabyo yadde yadde kale ng’envumbo esaanye ebajjibweko.President wa Burundi Evareste Ndayishimiye asanyukidde nnyo ekikolwa Kya America n’agamba nti eggwanga ligenda kuddamu okutambula obukwakku.Mu Burundi yagwayo obutabanguko gyebuvuddeko ng’obusinga obungi bwava ku mbeera yabyabufuzi ebyali bidobonkanye ebiseera ebyo.Wiliwo n’abakungu ba Burundi 11 abaali bassibwako envumbo obutaddayo kulinnya mu America nga kuliko ne ssaabaminisita w’eggwanga eryo Alain Guillaume Bunyoni kyokka kati bonna nnati zibajjiddwako.
Wabula ebimu ku bibiina byabalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bakubye ebituli mu kikolwa Kya America nti kubanga ebikolwa ebikyamu bingi bikyegiriisiza mu ggwanga.