Government okuyita mu ministry y’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga etutte kampuni n’amatendekero 7 mu parliament, eyagala parliament egikkirize egasonyiwe emisolo egitali gimu.
Olukalala okuli kampuni zino lutwaliddwa eri akakiiko ka parliament akalondoola eby’ensimbi n’okuteekerateekera eggwanga, nga kuliko ettendekero lya Makerere business institute eritegerekese nti nnanyini lyo mubaka wa parliament government eyagala lisonyiyibwe omusolo gwa bukadde 239.
Minister omubeezi ow’ebyensimbi Henry Musaasizi abuulidde ababaka nti ettendekero lino COVID-19 yalikosa nnyo, era terisobola kusasula musolo ogwo ogwa Income Tax oguva ku magoba kampuni geekola.
Ettendekero eddala ye University ye Nkumba ,government gyeyagala okusonyiwa omusolo gwa Pay as You earn gwa buwumbi 4 n’obukadde 479.
Okusinziira ku minister Musaasizi, University eno eye Nkumba nayo Covid yaginyigiriza nnyo, omuwendo gw’abayizi gwakendeera songa n’abayizi bangi baagiryazaamanya bwebaamaliriza emisomo nga tebasasudde.
Kampuni endala eyitibwa J2E investment Corporation eno nga kitegerekese nti yezimbira amagye ebimu ku bizimbe byayo e Kaweweta. Okusinziira ku minister Musaasizi, kampuni eno embeera gyerimu, tesobola kusasula musolo oguweza obuwumbi 2 nóbukadde 700.
Kampuni endala ya Donati Kananura ,government eyagala egisonyiwe omusolo gwa VaT ne Rental Tax gwa buwumbi 3 n’obukadde 600, nga minister Musasizi agambye nti nnanyini kampuni eno ebirwadde bimubala embiirizi, takyesobola ,akaddiye era government kweyasinzidde okusaba emusonyiwe omusolo ogwobuwumbi 3 n’obukadde 600.
Kampuni endala eri ku lukalala luno eyitibwa Nicontra Limited ebanjibwa omusolo gwa VAT gwa bukadde 931, government eyagala kugisonyiwa nti kubanga nnanyini yo atubidde mu mabanja ga bank geyeewola
Peter Lokwang omusuubuzi we Moroto wakusonyiyibwa obukadde bwa shs 385,nti kubanga abakozi bakozesa mu birombe gyasima eby’obugagga ebyomuttaka e Moroto nti bagaana okubasoloozaako omusolo gwa with holding tax
University ye Busoga nayo government eyagala asonyiyiwe omusolo gwa bukadde 783.
Minister Musaasizi anyonyodde nti government bweyeddiza obwannyini bwa University eno, Ssaababalirizi w’ebitabo bya government yakola okubalirira naasanga nti yali ebanjibwa omusolo gwa PAYE gwa bukadde 783 ezo government zeyagala okuwandukulula mu bitabo.
Wabula wadde government eyagala okusonyiwa amatendekero ago ne kampuni ezo omusolo, erina okunoonya ensimbi yeeba esasula ensimbi ezo ku lwa kampuni ezo.
Omubaka wa Butambala Mohammed Muwanga Kivumbi ssentebe wákakiiko agambye nti ministry y’ebyensimbi yadde yeyama okusasula omusolo ogwo oguba gusoonyiyiddwa kampuni ,nti naye tegusasula ekiryazaamaanya eggwanga.
Mohammed Muwanga Kivumbi agambye nti okusinyiwa kampuni Eno tekiriimu bwenkanya yadde, era wetaagawo okunyonyola okwenjawulo ku ngeri government ku kampuni ezokusasulira emisolo.