Okukuunga abantu okugaba omusaayi zeezimu ku nteekateeka Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll zakulembeddemu, mu kaweefube w’okusitula eby’obulamu mu Uganda.ηη
Ssabasajja Kabala Ronald Muwenda Mutebi ll nga ayita mukitongole kye ki Kabaka Foundation yasiima natandiikawo enteekateeka y’okukuηηaanya omusaayi mu 2018, eyamala emyaka 4 ng’eyindira mu Bulange Mengo.
Mu mwaka gwa 2021 Omuteregga Kalemakansiingyo yasiima enteekateeka y’okugaba omusayi okutambuzibwa mu masaza ga Buganda gonna abantu basobole okugaba omusaayi mu bungi, oluvannyuma lwa Uganda yonna okubalukamu ebbula ly’omusaayi era nga yatandiikira mu ssaza Kyadondo nekomekerezebwa mu Ssaza Buwekula.
Mu nteekateeka eno omuwendo gw’abantu abagaba omusaayi omulundi ogusooka baali abantu emitwalo 9, nga baagaba Units z’omusaayi ezisukka mu mitwalo 15 ,ekintu ekyayamba enyo okutaasa obulamu bwa bantu abaali beetaga omusaayi mu malwaliro, omuli abakyala abazaala, abaana abato, abagudde ku bubenje n’endwadde endala.
Mu mwaka gwa 2022 ekitongole ky’ensi yonna akivunaanyizibwa ku kukungaanya omusaayi ki An International Division of Americans Blood Centers, kyawa Kabaka Engule ey’okubeera omuntu asiinze okukunganya munsi munsi yonna eya Blood Drive Partner of The Year 2022.
Mu ngeri yeemu mu mwaka gwa 2023 ekitongole kya Red Cross munsi yonna kyawa Kabaka engule eyokubeera omuntu asinze mu Nsi yonna okukuunga abantu okugaba Omusaeyi mu kiseera ekitono okuddukirira abali mu bwetaavu eya Henry Dunant Award, era nga eno egabibwa omulundi gumu mu mwaka.
Ng’Obuganda bweteegekera okujaguza amazaalibwa ga Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll ag’emyaka 70, banna Uganda abateekebwako omusaayi okutaasa obulamu mu kiseera ekyali ekyakazzigizigi olw’ebbula ly’omusaayi bayanzizzanyo Ssabasajja Kabaka okulwanirira obulamu bwa bantu ewatali ku Sosola mu mawanga, kubanga omusayi ogwakunganyizibwanga gwatwalibwanga mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo.
Lutaaya Moses Mukoma nga mukozi mu Bwakabaka okuva mu Ssaza Kyadondo yeyanzizza nnyo Ssabasasajja Kabaka kubanga omusaayi ogwakunganyizibwa gwataasa obulamu bwa mukyalawe eyali olubuto ng’agwetaaga, era nga mukisera kino yasobola okuzaala obulungi.
Namusoke Margret okuva mu Ssaza Bugerere bweyeyanza Ssabasajja tamala, nti kubanga omusaayi ogwakunganyizibwa gwegwamuzza engulu bweyali alwadde omusujja era agamba nti yateebwako eccupa z’omusaayi 3.
Ssemujju Muhammad okuva mu Ssaza Buwekula ayagaliza Ssabasajja amazalibwa amalungi, era nategeza nti omusayi Kabaka gwe yakunganya gwataasa mugandawe eyali agenda okufa olwokugwamu omusaayi.
Bisakiddwa: Nakato Janefer