Emyaka giweze 30 beddu nga Nnyininsi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II átudde ku Nnamulondo alamula Obuganda.
Omuteregga Nnantalinnya mu Kateebe yalya Engoma nga 31 July,1993.
Omukolo guno ogw’ebyafaayo gwali Naggalabi Buddo mu ssaza Busiro.
Bwali buwanguzi bwa maanyi obwatuukibwako, anti waali wayise emyaka 27 ngÓbuganda buli mu kibululu, olwóbwakaba obwali bwawerebwa Appolo Milton Obote mu 1966.
Nga 31 July,1993 Nnamungi wómuntu yakwatirira akasozi Naggalabi-Buddo ku mukolo ogwo ogwébyafaayo ng’Obwakabaka buddawo.
Mu bangi abangi abataalutumira mwana mwe mwali Omukulembeze wéggwanga Yoweri Kaguta Museveni ne mukyala we Janet Kataha Museveni nábakungu bangi ddala okuva mu government eya wakati.
Kwaliko abakulembeze bénnono okwali eyali Omukama wa Tooro Patrick Kaboyo Olimi III, Omumbejja wa Tooro Elizabeth Bagaya Akiiki, eyali Omugabe wa Ankole Ntare IV John Patrick Barigye nówuwe Denise Barigye.
Kyabazinga wa Busoga eyaliko Henry Wako Muloki, Omukama wa Bunyoro-Kitara Agutamba Solomon Gafabusa Iguru, ekibinja kyábakungu abaava mu bwakabaka bwa Eswatini abaakiikirira Muswati III, eyali omukulembeze wénnono owa Zulu Kabakezulu Goodwill Zwelitini bonna baaliwo ng’abajulizi nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atikkirwa nga Kabaka wa Buganda owa 36.
Eyali president wa Kenya Daniel Arap Moi, eyali president wa Misiri Hosni Mubarak yaweereza abakungu ba government ye, eyali owa Palestine Yasser Arafat naye yasindika abagenyi, nábalala bangi ddala okuva emitala wámayanja baaliwo.
Akasozi Naggalabi –Buddo kaawuuma era wakati mu nnamungi wómuntu, Ssaabataka Ronald Muwenda Mutebi yayisibwa mu mikolo gyonna egyómulangira agenda okulya Obuganda.
Yasooka nómukolo ogwókulwana olutalo olwébirumbirumbi era naawangula omutaka Ssemanobe.
Ggaganga Kasujju Lubinga yasumikira Kabaka olubugo, n’amutegeeza nti alijjukirwanga emirembe gyonna nga Kabaka wa Buganda owa 36 eyazaawo Obwakabaka obwali buzaaye.
Omutaka Mugema ow’enkima yasumikira Kabaka olubugo, n’amukuutira okusalanga emisango n’amazima n’obwenkanya.
Yatuuzibwa ku nnamulondo nókutikkirwa Enguugu, ngémikolo gyakulemberwa eyali Katikkiro Joash Mayanja Nkangi, ne ba jjajja abataka abakulu bóbusolya nga bakulirwamu Omutaka Mugema.
Omukolo ogwámatikkira gwali makula gennyini, abakulembeze bénzikiriza abénjawulo nabo beenyigira mu kutikkira Omutanda, okwali eyali omusumba wéssaza lyé Masaka Bishop Adrian Kivumbi Ddungu.
Mu Kwogerakwe yakikkaatiriza nti obuguminkiriza bwÁbaganda bwayamba nnyo mu kuzzaawo obwakabaka, bwatyo nábakuutira obutavanga ku buguminkiriza.#