Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’emisinde, Faustino Kiwa, akakasizza nti abaddusi Joshua Cheptegei ne Jacob Kiplimo, tebagenda kudduka misinde gya mita 5000 mu mpaka za Olympics ezigenda mu maaso mu kibuga Paris ekya Bufalansa.
Agambye nti abaddusi bombi bakyalina obukoowu n’obukosefu bwebaafuna, oluvanyuma lw’okudduka emisinde gya mita omutwalo 10,000.
Mu kiwandiko ekifulumiziddwa omutendesi Faustino Kiwa, kiraze nti abaddusi bano balumizibwa mu binywa, nga n’olwekyo basazewo obutetaba mu misinde gya mita 5,000 baleme kwongera kukosebwa nnyo.
Babadde bakudduka ku Wednesday nga 07 August,2024 emisinde gya mita 5000 egy’okusunsulamu, ate nga fayinolo egenda kubeerawo ku Saturday nga 10 August,2024.
Uganda egenda kukiikirirwa omuddusi omu yekka mu mita 5000 ezabasajja, Oscar Chelimo.
Joshua Cheptegei agenze okuwanduka mu misinde gya mita 5,000 nga yakamala okuwangula omudaali gwa zaabu mu mita omutwalo 10,000, mweyateereddewo ne record ya Olympics ey’okuddukira emisinde gino obudde obutono ddala obw’eddakiika 26:43:14.
Cheptegei yeyawangula omudaali gwa zaabu mu misinde gya mita 5000 mu mpaka za Olympics ezaali eTokyo Japan ate Jacob Kiplimo n’awangula omudaali gw’ekikomo mu mpaka ze zimu.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe