Omujulizi Joseph Mukasa Balikuddembe ye mujulizi Omukatuliki eyasooka okuttibwa.
Yoomu ku bajulizi 22 abajjukirwa mu eklezia katulika.
Yali yeddira Kayozi.
Yazaalibwa Njubeeseeta-Nkulakito, nnyina yeyali Kajwahya Omutooro.
Mukasa naye yali mumbowa wa Kabaka Muteesa I ne ku Myanga yali muganzi nnyo.
Yozefu Mukasa Balikuddembe mu biseera by’entalo z’eddiini yeyali akulira enzikiriza y’Ekikatuliki mu Uganda yonna, era ne mu biseera ng’abasomi (Abaminsani) bagobeddwa mu Uganda, Balikuddembe yatwala mu maaso omulimu gw’okukuza Eklezia w’Omukama mu Buganda ne Uganda yonna okutwalira awamu.
Mukasa yali musajja mumalirivu nnyo, era kigambibwa nti olumu Enswera (Omusota) eyakula n’ewola yayingira mu lubiri ng’egezaako okulumba Kabaka, mbu Mukasa yagezaako okuwammanta (Okunoonya) omuggo negumubula, kwekusalawo n’ayambalagana nayo okutuusa lweyagitta.
Olw’ekikolwa ky’okutaasa Kabaka enswera eyali eswakidde, Kabaka Muteesa I yatuuma musajjawe Mukasa erinnya erya BALIKUDDEMBE, era n’akkiriza eddiini y’Obukatuliki esomesebwe mu Buganda kubanga ya mirembe.
Ku mirembe e Myanga, Yozefu Mukasa Balikuddembe eyali aweza emyaka 20 egy’obukulu yattibwa nga 15 November 1885 e Nakivubo era n’ayokebwa n’asaanaawo.
Ye mutuukirivu Awolereza Bannabyabufuzi n’abakulembeze ab’ennono.
Bikunganyiziddwa: Kamulegeya Achileo K