John Nagenda afiiridde ku myaka 84 egy’obukulu. Nagenda y’abadde omuwi w’amagezi eri president Yoweri Kaguta Museven ku nsonga z’eby’amawulire.
Okusinziira ku Minister avunaanyizibwa ku nsonga z’obwapresident Milly Babalanda, John Nagenda afiiridde mu ddwaliro lya Medipal mu Kampala.
Yakiikirirako Uganda mu mpaka z’ensi yonna ez’omuzannyo gwa Cricket ezaayindira mu Bungereza mu 1975.
Muzeei Nagenda ajjukirwa nnyo olw’obukugu bw’abadde nabwo mu kuwandiika emboozi ez’ensonga era ezinyuma, era yawandiika n’ebitabo okuli ekiyitibwa One man’s week: un reserved kyeyafulumya mu 2019.
Yasomera Namutamba Primary School mu Ssingo,Kings College Budo Saako ne Kigezi High School, ne Makerere University.
Kigambibwa nti okuwandika yakutandikira ku ssomero lya Kings College Budo mu 1950.
Yakolerako e Nairobi mu Kenya, olwo Nagenda mu America gyeyabeera okumala akaseera nga akolokotta government eyaliko ebiseera ebyo.Yakomawo mu Uganda oluvanyuma lwa president Museveni okwata obuyinza 1986. Okuva lweyakomawo abadde muwandiisi ow’enjawulo mu mpapula z’amawulire, nga mukugu mu kuzannya omuzannyo gwa Cricket era abadde muwi w’amagezi eri president Museven ku nsonga z’amawulire.#